Numbers 26:5-11


5 aAb’omu kika kya Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano:
abaava mu Kanoki, lwe lunyiriri lw’Abakanoki;
abaava mu Palu, lwe lunyiriri lw’Abapalu;
6abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni;
abaava mu Kalumi, lwe lunyiriri lw’Abakalumi.
7Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Lewubeeni. Abo abaabalibwa baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu amakumi asatu (43,730).
8Mutabani wa Palu yali Eriyaabu, 9 bne batabani ba Eriyaabu baali, Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu be bo abaali abakulembeze mu kibiina abaajeemera Musa ne Alooni era baali mu kabondo k’abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama Katonda. 10 cEnsi yayasamya akamwa kaayo n’ebamira, ne bafiira wamu ne Koola; n’abagoberezi ba Koola ebikumi bibiri mu ataano nabo baazikirizibwa mu muliro ogwabasaanyaawo. Ne babeera kabonero ka kulabirako akanaalabulanga abantu. 11 dKyokka olunyiriri lwa Koola terwazikiririra ddala lwonna.
Copyright information for LugEEEE